Eyatandika Okuzaalira ku Myaka 12, Abuusa Bazzukulu

0
722

Mu mateeka agalamula kuno, omuntu yenna okuyingira obufumbo alina okuba nga awezezza emyaka 18 noomusobyo, wabula, wakyaliwo omuze ogukyesibye mu bannansi ogw’okufumbiza abaana abataneetuuka era guno, guli kumpi mu buli kitundu. Embeera eno esinga nnyo mu buvanjuba bwa uganda ng’eno nno ousinziira ku UNFPA mu alipoota yabwe, abaana 52 ku buli kikumi abali mu bufumbo mu buvanjuba baafumbirwa tebaneetuuka. Mu disitulikiti eya Butaleja gyetusanze Sumaiya Najumba, nga yazzukuza ku myaka 25, wetwogerera alina emyaka 27 naye muwalawe gweyazaala ku myaka 12 ate ye ku myaka 15 alina abaana 2.