Gavumenti ya Kutumbula Embeera Y'ebyobulunzi mu Ggwanga Lyona

0
943

Gavumenti ya Uganda eyongedde amaanyi mu kaweefube w’okwongera ku muwendo gw’ente z’ennyama n’amata ezirundibwa mu Uganda. Mu bimu ku bikoleddwa mulimu okuwa abasawo b’ebisolo entambula egenda okubasobozesa okutuuka ku buli mulunzi mu district z’omuvanjuba n’obugwanjuba bwa Uganda.