Kitatta ne Banne Baasangidwa N’ebyamagye

0
923

Omuyima wa Bodaboda 2010 Hajji Abdallah Kitatta n’abalala 12 olwaleero basimbiddwa mu kkooti y’amagye nebasomerwa emisango 6 egyekuusa ku kuba n’ebintu by’amagye omuli emmundu n’ebyambalo byago mu bukyamu. Bona e 13 bagaanye okukkiriza oba okwegaana emisango egibasomeddwa ssentebe wa kkooti y’amagye Lt. Gen Andrew Gutti, nga bagamba nti kkooti eno terina buyinza kubavunaana kuba bbo ssi bannamagye.