Mukolaganye Mutya ne Poliisi Yammwe?

0
457

Enkolagana wakati wa poliisi n’omuntu wa bulijjo yeyongedde okubijja era buli ludda lulaba lunnaalwo nga muyeekera. Abakugu bagamba embeera eno yeyolekera nnyo mu biseera eby’o buzibu, nga abantu babulijjo tebeesiga poliisi n’abamu okugaana okugiwa amawulire kko ne poliisi okwesulirayo ogwannaggamba ku bizibu ebiruma abantu, mu nnyo nga mu kwanukula emiranga gyabwe. Bino bizuuliddwa ekitongole ekinoonyereza ekya Fredrich Ebert Stiftung (FES), mu kunoonyereza kwebakoze mu disitulikiti satu mu uganda.