Obwakabaka tebunnakendeeza kubanja ‘Ebyaffe’

0
957

Wadde nga ensonga y’okugaziya ekibuga Kampala etandise okwogeza abantu obwama, obwa Kabaka bwa Buganda tebunavaayo mu butongole kwogera wa webuyimiridde kunsonga eno. Mu lutuulwa lwo Lukiiko lwa leero Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezezza nga bwayafunye ebiwandiiko okuva mu kitongole ekikola ogwokuteekerateekera eggwanga ekya National Planning Authority nti era bwanamala okwetegereza ensonga eno wakutegeeza obuganda mu butongole wa obwakabaka webuyimiridde ku nsonga eno.