Abakulu B'ebika Boogedde, Tebawagidde Eby'okugoba Minisita Namuganza

0
1069

Abakulu b’ebika mu Busoga wamu n’abakulu abeebuuzibwako ensonga batabukidde ababaka paalamenti abaavuddeyo nebagoba munnaabwe ow’e Bukono era Minisita w’ebyettaka Persis Namuganza mu kabondo ka Busoga. Bano nga bakulemberwa eyali Minisita w’ebyobuvubi Fred Mukisa basabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuyingira mu nsonga za sipiika Kadaga ne minisita Persis Namuganza.