Abasirikale ba Poliisi Abakyala Basiibye Bagaba Musaayi

0
486

Abasirikale ba Police abakyala leero basiibye mu kugaba musaayi ku tendekero lyabasirkale eBwebajja, nga ebimu ku bikujuko eby’okwetegekera olunaku lw’abakyala. Abakyala ba police bino babikoze bayita mu mukago gwabwe ogwa Uganda women police Association, mwebategese okuyita okutuuka ku bakyala ba police bonna nokumanya okusomooza kwebayitamu nga bakola emirimu gyabwe basobole okubayambako.