Atalina Densite Tagula Layini, UCC Elagidde

0
1117

Akakiiko akavunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga ka Uganda Communications Commission kayisizza ebiragiro ebiggya naddala ku kutunda layini z’essimu. Ssenkulu wa UCC Godfrey Mutabazi ebiragiro bino abiyisizza enkya ya leero bw’abadde mu lukiiko lw’abamawulire lweyayise, ku kitebe ky’ekitongole e Bugolobi mu Kampala Okuva na leero, tewali akkirizibwa kutunda oba okugula line y’essimu (SImcard) ku batembeeyi oba emidaala okutali kyuma kisoma densite y’eggwanga so ng’era UCC eragidde kkaadi z’essimu zonna ezaawandiikibwa nga tebakozesezza densite ziggyibwe ku mpewo.