Bannakyala Bagumidde Okubaboola

0
886

Obuwangwa obw’enjawulo mu Uganda bukyalemedde ku nnono y’okutunuulira abakyala ng’abantu wansi ennyo, era abatenkana na basajja. Mu bitundu ebisinga abakyala basigala beebuuza wa gyebagwa oluvannyuma lw’okufumbirwa anti ng’ewaabwe gyebazaalwa babawaddeyo so nga ne mu bufumbo babajuliza gyebazaalwa. Mu buwangwa bwa Abasamia e Busia na Bajapadhola e Tororo, omukyala bw’afumbirwa, akoma awo okubeera mu kika kye ate era tabeera mu kya bba!