Ebiragiro Ebipya mu Kuvuba

0
630

Omulimu gwo kuvuba ku Nyanja Nalubaale gwolekedde okwongera okukaluba oluvanyuma lwa minisitule ye byobuvubi wamu n’ekitongole kya UPDF ekiri ku mulimu gwo kulwanyisa envuba embi ekya Fisheries Protection Unit okuleeta nate ebiragiro ebikkakali ku bavubi omuli okwewandissa n’amaato gabwe okufuna liyisinsi ekiriza omuntu okuvubira ku mwalo gumu gwoka ate nga akirizibwa kuvuba kika kya kyenyanja kimu kyoka. Minisita we byobulimi, obulunzi n’obuvubi Vicent Ssempijja agamba nti enteekateeka eno etandika wakati wo mwezi guno erubiriddemu kukendeza ku mujjuzo okuli ku Nyanja wamu n’okwongera okulwanyisa envuba embi.