Ekiseera Nga Kayihura Ye Ssaabaduumizi, Yakola Ki?

0
991

Gen. Edward Kalekezi Kayihura atemera mu gy’obukulu nga 62 munnamateeka mutendeke. Yalondebwa ku bwa ssaabaduumizi wa poliisi mu 2005, ng’addira Gen. Edward Katumba Wamala mu bigere. Ebiseera bye ebisinga ku bukulembeze buno abimazeeko ng’eryaanyi alissa ku bavuganya gavumenti era yatandikira ku Col. Kiiza Besigye, mu biseera ebyo eyali ava mu buwanganguse e South Africna okukomawo kuno yeesimbewo ku bwa president mu 2006. Olw’okuba Bannayuganda bangi baalina ennyonta mu Besigye baakungaana okumwaniriza n’okumuwagira era Kayihura ne basajjja be nebabaligita emiggo mizibu. Kinajjukirwa nti Uganda mu kugeenda mu nkola ey’ebibiina ebingi omulimu gw’omuduumizi wa poliisi gwali nga gwakulambika b’aduumira naye nno Kayihura bw’agufuna yali ng’eyali atumiddwa nti ogugwe gwa kwanganga bavuganya gavumenti era mu nsonga eno, ky’akoze tekibuusibwa maaso anti abalaga ebisago bangi ate n’abafiiridde mu busambatuko bawera. Mu kulonda okwa 1996 ne 2001 amagye gegaali mu mitambo egy’okukkakkanya abavuganya naye Kayihura bweyajja guno n’agweddiza era yagenda mu maaso n’okwemalira ku kulwanyisa abavuganya gavumenti mu kulonda kwa 2006, 2011 ne 2016. Wakati mu nkola y’eyemirimu bantu bangi abavuddeyo okwambalira Ge. Ksyihurs omuli n’ekitongole ky’ensi yonna eky’obwannakyewa ekirondoola eddembe ly’obuntu ki Human Rights Watch; ku nsonga y’abantu abaakubwa amasasi mu kwekalakaasa mu Buganda, Kabaka bweyatangirwa okugenda e Bugerere okwo ssaako n’okwekalakaasa kwa Walk to work 2011. Wadde nga bino byonna byalabibwa ng’ebikolobero, naye mu maaso nga mukama we byandiba nga byali birungi anti azze amwongera ebisanja era mu 2013 yamulinnyisa eddaala mu magye, n’alyooka ayita mu kibuga Kampala ng’akaada ng’omumegganyi amazeemu ekigwo. Enfunda nnyingi, poliisi ng’eduumirwa Gen Kale Kayihura era ekolokoteddwa olw’okukozesa abasajja abakubi b’emiggo nebakuba abantu. Poliisi era bangi baagisongamu olunwe nti ekolagana n’obubinja bw’abamenyi b’amateeka omuli Kifeesi ne Kiboko squad. Bannabyabufuzi okuli Besigye ne Lukwago bebamu ku banyumya kiboko zino, bw’ojja zaabakubiddwa jjo. Gen Kayihura takomye ku bannabyabufuzi abavuganya gavumenti, wabula ne bannamawulire nabo poliisi bagiwulidde akagifaamu anti bazze bakubwa n’okuteekebwako emisango Kyokka Gen. Kyihura naye abadde yeekokkola bannamawulire ng’abalumiriza okuba ne kyekuubiira era omwaka oguwedde, ensonga z’okufa kwa Afande Kaweesi bwezaalinnya enkandaggo, ye kwekuddukira mu kkooti eyimirize abafulumya amawulire ku nfa ya Kaweesi, mu kiseera nga bangi bagamba nti enfa ye yali mpange Okumanya ng’ebya Kaweesi tebyali byangu, President Museveni bweyali mu lumbe yayatula nti poliisi yeerimbiseemu abamenyi b’amateeka era n’alagira Kayihura agitereeze. Naye bino byonna bigenda okutuukawo ng’oluvuuvuumo lwatandika dda Kayihura yali wa kugobwa. President Museveni bweyamala okulayizibwa ku kisanja ekyokutaano waliwo abaayogera nti olwo omulimu gwa Gen. Kayihura ogw’okukkakkanya Besigye gwali guwedde era ng’ekyali kiddako kumugoba. Naye abaffe Kayihura talinayo birungi ? Mu bbanga Gen Kayihura ly’amaze nga y’aduumira poliisi ekitongole kisobodde okuzimba ekitebe eky’omulembe e Naguru n’akunga ne banne okukola SACCO batereke ssente era kati erimu bammemba abali eyo 27,000 nga batereka ssente ezisoba mu buwumbi musanvu (7b). Kyokka newankubadde nga guli gutyo era waliwo okwemulugunya nti abapoliisi bali mu mbeera mbi. Kaihura era yeewaana nti yakola nnyo mu kulwanyisa obutujju, okutendeka abapolisi, okutumbula embeera zaabwe naddala abakazi n’okwongeza embalirila ya poliisi okuva ku buwumbi 75 mu mwaka gw’ebyensimbi 2003/4 okutuuka ku buwumbi 500 ezaabweebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno.