Emmere Y'ababundabunda Bagisomola

0
413

Abakozi babiri ab’ekitongole ky’obwa nakyewa ki Danish Refugee Council bakwatiddwa nga balangibwa kubba mmere ya babundabunda erina okutwalibwa mu nkambi ya Kyaka II resettlement camp mu disitulikiti y’e Kyegegwa. Bano okukwatibwa kiddiridde ababundabunda okutemya ku bobuyinza nti waliwo okukusa emmere okuva mu nkambi ng’olukwe baalulabye nti lulimu abakozi b’ebitongole ebigaba obuyambi.