Minisita Kibuule Bamusonzeemu Nate Kuby'ettaka

0
554

Abakulembeze ba ssetendekero wa Uganda Christian University (U.C.U) e Mukono balumirizza minisita w’ebyamazzi Ronald Kibuule n’abalala okubba etakka lya Yunivasite eno, olwo nebazimbako amayumba agasulwamu. Amyuka ssenkulu wa ssetendekero ono, Dr. Rev. John Musisi Sennyonyi ategeezezza akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka akakulemberwa omulamuzi Catherina Bamugemereire nti, batawanyiziddwa nnyo abantu abesenza ku takka lya bwe nga tewali alibawadde, naddala nga abamu ku bano bali mu gavumenti.