Minisita Namuganza Avumye Sipiika

0
947

Obutakanya obubalusewo wakati wa Sipika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ne Minisita omubezi akola kunsonga zettaka Persis Namuganza tetumanyi jjebugenda kukoma. Kiino kidiridde Minisita persis Namuganza okulumiriza Sipika Rebecca Kadaga okuba emabega wokwagala okumulwanyisa kwosa nokumutta kunsonga ezitanaba kutegerekeka. Minisita Namuganza ara akunze abantu be Ssaza lye Bukono lyakikirira mu paalamenti obutaddamu kukiriza kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula Nadiope owokuna kulinya mu saaza liino nga agamba nti kekadde abasoga okuddamu okulonda Kyabanzinga omutufu era owe byobuwangwa.