Okuyiira Abantu Asidi Kukyaliwo Nnyo

0
537

Abantu bebaayiira Acid wabula nebasimattuka okufa balaze obwennyamibvu olw’engeri emisango gyabwe emisango gyabwe gyegikwatibwamu ekitongole ekiramuzi. Bino babibuulidde bannamawulire ku kkooti asookerwako e Nakawa ekibiina mwebeegattira ki END ACID VIOLENCE UGANDA bwekibadde kigenze okuwulira omusango munnaabwe Judith Angole nga kati apooca na biwundu mu ddwaliro e Kiruddu gw’avunaana eyali muganzi we James Kazungu okumuyiira ACID.