Supreme Mufti Ayagala Bumu mu Bannaddini

0
511

Supreme Mufti Sheikh Silman Kasule asabye banaddiini mu nzikiriza ezitali zimu okukomya okunenengana nabenzikiriza endala wabula balowooze kungeri gyebasobola okwegatta n’okutema empenda ku ngeri gyebasobola okukulakulanyaamu abagoberezi babwe. Supreme Mufti okwogera bino abadde ku Lugazi Diocese bwabadde alambula District y’obusiraamu eya Greater Mukuno mukawefube gwaliko ow’okutuuka kubantu bakulembera n’okusobola okuzuula ebyo byebetaaga okusobola okwekulakulanya n’okutwala eddini mu maaso.