Uganda Ekiikiriddwa Mu Lukungaana

0
929

Sipiika wa Paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga asabye abakulembeze b’amawanga ga Africa okukendeeza ku busungu obuvaako entalo eziyitiridde olwo Africa lw’eneesobola okukendeeza ku banoonyi b’obudamu abasukiridde ku lukalo olwa Africa. Kadaga ng’ayogerera mu lukungaana lw’ababaka ba paalamenti olutaba amawanga olwa Inter Parliamentary union e Geneva mu Switzerland, asabye n’amawanga g’abazungu okukwasizaako bannansi ba Africa nga batandikawo ebintu ebireetera abadugavu okunywerera munsi zaabwe baleme kuziddukamu.