Omulabirizi Luwalira Assimatusse Omulabe ku Kanisa Namirembe

0
936

Abagoberezi ba Kristo abakedde okwetaba mu kusaba kwa Pasika mu lutikko e Namirembe balabye katemba atabadde musasulire omusajja abadde yesibye embugo bwafubutuse ebweru gyabadde asimbye emmotoka neyeesogga ekkanisa nakuulita butereevu okutuuka ku wolutaali ewabadde omulabirizi Luwalira Wabula ono alabuukiriddwa mangu era n’akwatibwa nafulumizibwa era okusinza nekugenda mu maaso wakati mukwewunaganya kiki ekinawudde omusajja okulumba omusajja wa Katonda.