Ababundabunda Balumiriza Salva Kiir Okweyagaliza

0
333

Abanoonyi b’obubudamu abaava e S. Sudan ababeera mu disitulikiti y’e Yumbe bavumiridde nnyo pulezidenti w’eggwanga lyabwe Salva Kiir, olw’okusuulayo ogwa naggamba kubyetaago by’eggwanga naddala okukyusa mu byobufuzi, kyebagamba nti kiviiriddeko emivuyo mu ggwanga lyabwe. Ababundabunda bano batabuddwa olw’ebbula ly’ebyetaago mu Uganda ng’amazzi, awokusula, obujjanjabi n’okusoma.