Abasawo Abacuba Bajja

0
1023

Gavumenti ya Uganda ekakasizza nga bw’emaze eneteseganya zonna ne ginnaayo eya Cuba okukkiriza asaawo ba-doctor nga bannaansi ba Cuba okujja mu Uganda okukola mu malwaliro ga gavumenti. Baminisita babiri, avunaanyizibwa ku bakozi ne munne ow’ebyobulamu babuulidde akakiiko ka paalamenti akakola ku byobulamu nti abasawo Abacuba (Nga bwebamanyiddwa mu Uganda, abakugu mu kujjanjaba endwadde eziwera baakutwalibwa mu malwaliro amanene gonna okwetooloola egwanga okusobola okuyambako abasawo Bannayuganda abalala abaliyo.