Ab'e Kamuli Bagamba Mbu Enguudo Zisusse Obulungi

0
862

Wadde nga Bannayuganda mu bibuga ebisanga obungi bakaaba lwa nguudo kubeera mbi ate mu kibuga ky’e Kamuli mu Busoga bakaaba lwa nguudo mwasanjala ezaakolebwa gyebuvuddeko nti ye kanaaluzaala w’obubenje obweyongedde mu kitundu. Abatuuze mu kitundu basabye abakulira ekibuga kino bakolere wamu ne Poliisi babasomese ku ngeri y’okukozesaamu enguudo za kolaani olw’obubenje obussuse okutta bannaabwe.