Kaddu Eyalumbye Omulabirizi Ssi Mulalu

0
610

Poliisi ekakasiza nti omusajja eyalumbye omulabiriza w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira ku woolutali ssi mulalu nga bwekyabadde kirowoozebwa. Poliisi egamba nti Kaddu yakebeddwa omutwe ne kizuulibwa nga mulamu tteke era taliiko kimuyawanya nga kati agenda kuggulwako emisango ebiri omuli okutiisatiisa omuntu nokutataganya emirembe gy’e kanisa.