Kirumira Gwamusinze Oba Baamuvuvubye?

0
584

Avunanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga ku luuyi oluwabula Gavt, Muhammad Muwanga Kivumbi agamba nti poliisi okusalira omusango eyali omuduumizi waayo e Buyende, Muhammad Kirumira ng’emuvunaana okuteekanga abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka mu lujjudde kiwadde poliisi yonna enkola empya ey’okugobererwa, ate gy’agamba nti bayinza obutagituukiriza.
Omukugu mu kunoonyereza ku misango era nga yaliko omupoliisi wa Flying Squad David Fred Egesa naye agamba nti ssinga Kirumira omusango ogwamusingisiddwa gwayanjuddwa ku mulembe gwa Gen. kale Kayihura tegwandimusinze kubanga yali nkola ya poliisi yonna okwanika abateeberezebwa okuba abazzi b’emisango.