Maama N’omwana Bafiiridde Mu Ssanya

0
705

Abatuzze mu kibuga mukono bakedde kugumba ku ddwaliro lya Mukono Health Center IV okulaga obutali bumativu nga entabwe eva ku basawo mu ddwaliro lino okulagajalira maama ategerekesse nga Nakyeyune Juliet abadde azze okuzaala n’affa wamu n’omwana we ku makya galeero. Bana mukono bagamba nti eddwaliro lino lifusse katiro nadala eri ba maama abajja okuzaala kubanga kati kumpi buli wiiki wabeerawo omukazi affa olwa basawo okubalagajalira nga kwotadde okubasaba ensimbi eziri wakati we mitwalo 20 kwa 50 ezobuwazze mu ddwaliro lino elya gavumenti.