She Cranes Ekubye Aba Malawi

0
299

Kabadde kaseera kazibu nnyo eri abazanyi ba Malawi ababasi bwebakulukusiza amaziga abamu nebagaana nokwogeera eri bannamawulire bwebakubiddwa She Cranes . Omuzannyo gubadde gwa kasameeme era gugenze okugwa nga Uganda ebala goolo 54 ate Malawi ngebala 52. Kaputeni wa She Cranes Peace Proscovia yabadde omuzanyi w’olunaku bwatebye goolo 35 Uganda nefuna obuwanguzi bwaayo obusoose mu kibinja B mu mpaka za Common wealth ezigenda mumaaso mu Australia. Uganda yasooka nekubwa Newzland ogwasooka 64 ku 51. Kakati Uganda mu kwogeera okwangu emaze okwesoga ezensi yonna tegya kuyita muzakunsunsulamu.