Ssaabawolereza Atuuyanidde Mu Kkooti

0
763

Ssaabawolereza wa gavumenti Mwesigwa Rukuntana atunudde ebikalu nga abalamuzi ba kkooti etaputa ssemateeka etuula e Mbale bamukunya olwa palamenti okunanuula ekisanja kyayo okuva ku myaka etaano okudda ku musanvu. Abategeezezza nti akawaayiro ak’okusatu ennyingo 77 yeyakyusibwa sso ssi ak’okuna akalagira palamenti okweyongera ebbanga singa wabaawo akatyabaga. Kino abalamuzi tebakikkirizza era katono bamusse ebibuuzo.