Wuuno Omusika Atunda Ebyobugagga Abaimalawo

0
671

Olusala ekyaayi, luleeta munyeera okubonaboona, nabwegutyo bweguli ku ddundiro y’omugenzi Cranmer Kaaya esangibwa mu districts 3 okuli Luweero , Nakaseke ne Nakasongola, oluvanyuma lw’abaana okulemelerwa okukaanya nga kati basigalidde kutingana. Abakulira ebyokwerinda mu kitundu kino bagamba nti embeera ebasukulumyeko kuba Ranch eno eyolekedde okufufuka akatiro nga negyebuvudeko bayokerayo emotoka namba nesanaawo olwendoolito zabwe kwosa nababulooka b’ettaka okusimatuka okugajambulwa abaana abaali baatamye obugo.