Ekizimbe Kikubye Abantu

0
864

Wabaddewo akasattiro mu Muluka gwe Buziga wano ku kingizi z’ekibuga Makindye ekizimbe kya myaliiro esatu bwekigudde okukakana ng’abantu abawerako bawagamidde mu gafunfugu. Akabenje kano kabadde kumpi n’oluguudo Munyonyo era ebimitoka bya Poliisi bi wetiiye bireteddwa bukubirire okutaasa abantu ababadde balajanira mu gafunfugu. Omusasi waffe atuuse mu kifo awabadde enjega eno nabaako byatukunganyiriza.