Bigirimana Gwebabuuzziza Leero ku Kakiiko K'etta, Namwandu wa Aronda Bamuyise

0
876

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’e kikula ky’abantu, Pius Bigirimaana annyonnyodde akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire engeri gyeyaguzaamu Gavt ettaka lyeyagula nga liriko abatuuze. Bigirimaana wabula yeesamudde ebigambibwa nti minister w’ettaka Betty Amongi yalagira ayisibwe mu ngeri ya njawulo ng’asasulwa obukadde obunukkiriza mu 500 wadde nga yali tasaanidde kuzifuna.