Abazigu Banyodde Abaana Ensingo

0
887

Abatuuze be Naluvule mu disitulikiti ey’e Wakiso baguddemu ekyekango bwebagudde ku mirambo gy’abaana ba munnaabwe babiri bebabadde banoonya nga gigangalamye mu nsiko era nga gyasangiddwako ekangulo mu bulago eziraga nti baatugiddwa Abagenzi bano kigambibwa baababula ku lwakutaano lwa wiiki ewedde ku kasiki akaali ewa muliraanwa.