Ebyamaguzi Byebaakukusa Kati Vvu

0
875

Ekitongole ekiwooza ki uganda Revenue Authority olwaleero kikumye omuliro ku byamaguzi byonna byekizze kikwata mu myezi omukaga nga bikikusibwa okuyingira egwanga nga tebisasudde musolo ate ebimu nga byagaanibwa ku katale ke Uganda. Ku bino kubaddeko ebizigo, sabbuuni ne sigala nga bino byonna bibalilirwamu obuwumbi bwa Uganda bubiri zebyandibadde bisasula mu musolo. Ebyamaguzi byokeddwa ku kyokero ky’obwannannyini ekisangibwa e Nakasajja ku lw’e Gayaza mu disitulikiti y’e Wakiso.