Namukadde Bamutunzeeko Ettaka

0
1106

Abatuuze b’e Namilari mu district y’e Nakaseke basobeddwa eka ne mu kibira era nga babuliddwa ew’okutandikira okutaasa namukadde owemyaka 76. Kino kiddiridde muzzukulu w’omutuuze okumulimbalimba okulimba jajjaawe amuwe ebiwandiiko by’ettaka okuli n’ekyapa asomemu, n’akibuzaawo n’akitwalira omugagga okumulaga n’okumukakasa nti ye nnyini ttaka olwo n’alitunda lyonna nga liweza yiika 61.