Okulonda Kwa LC Kwa Gwamusanvu
Akakiiko ke by’okulonda kalangiridde olwa kummi omwezi ogw’omusanvu omwaka guno okulonderako ba ssentebe be byaalo okwetoloola eggwanga lyonna. Bwo obukiiko bwa bakyala ku mitendera egy’enjawulo bwakulondebwa okuva nga 3/7/2018 okutuuka nga 24/8/2018. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda akakasizza nti ku luno bafunye obuwumbi 21 bwonna obwetaagisa okutegeka okulonda kuno.