Kadaga Atagala Poliisi Enyiinyiitize Ebikwekweto ku Nguudo

0
962

Sipiika wa palamenti Rebecca Alitwala Kadaga asabye Ssaabaduumizi wa poliisi Okoth Martin Ochola okwongera abaserikale ku nguudo wamu n’e kkamera eziketta enkozesa y’enguudo embi nga bino bwebitaakolebwe obubenje bwakweyongerera ddala mu ggwanga. Bino biddiridde akabenje akaaguddewo mu kiro ekyakeesezza olunaku lw’eggulo baasi Eya kkampuni ya GAAGA bweyayingiridde tulakita eyabadde terina mataala era abantu 22 nebafiirawo nga nabalala bakyanyiga biwundu negyebuli kati.