Abatuuze Bakyawakanya Ebya Nukiriya

0
1122

Abatuuze b’omu byalo okuli Kisowera, Mpoma, Kituba ne Canan Sites ebisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, bakedde kwessa mu ddene neboolekera woofisi z’abakulembeze ba disitulikiti eno, okwongera okulaga obutali bumativu bwabwe eri enteekateeka za Uganda Energy Council ez’okuzimba etterekero ly’amayengo ga nuclear abatuuze gebagamba nti gabulabe eri obulamu bwabwe. Bano bakwanze omukaba wa Gavumenti e Mukono ekiwandiiko ekirimu ensonga zaabwe lwaki etterekero lino, terisaanye kuzimbibwa mu kitundu kyabwe