Bulijjo Bakugamba Enkumbi Terimba

0
794

Akalulira ekitongole kya government ekikola ku kunoonyereza ku by’obulimi n’obulunzi ekya National Agricultural research Organisation Dr Ambrose Agona, asabye ebitongole bya government ebikola ku by’okwekulakulanya okussa essira ku kuyamba abavubuka okwejja mu bwavu naddala nga bayita mu bulimi. Dr agona agamba nti abavubuka singa basomesebwa ku ngeri gyebayinza okujja ensimbi mu bulimi bakwongera okubwettanira balwanyise ekizibu kye bbula ly’emirimu. Okwogera bino abadde akyaddeko ku kyalo kye Makukuba mu Gomolola ye Nabbaale mu Mukono ngeno NARO ekutte ku bavubuka abasoba mu bikumi bibiri mu ataano okulwanyisa obwavu nga bayita mu nnima nennunda ey’omulembe.