Ebyalo Bigobeddwako Abantu

0
1000

Police e Mukono nga eri wamu n’ebawanyondo ba kkooti nga bakulembedde mu ebbiina lya gavubuka ga kawuula agabadde gabagalidde ebissi omuli amajambiya, ensululu enkumbi n’ebirala bakedde nawankya okuzinda ekyalo ekimanyiddwa nga Kirangira ekisangibwa mu ggombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono ne basengula abatuzze abasoba mu 300. Bano awatali kubako gwebebuzizza’ko wadde abakulembezze bo ku kyalo bamenye amayumba gabatuzze agasobye mu 30 ne’babasuulira ebintu byabwe ebweru nga kwotadde n’okukwatta abamu kubbo ababadde bagezako okwerwanako.