Gano Mazaalibwa Ga Sipiika ‘Waife’

0
1065

Bwe lwali bwe luti, mu mwaka gwa 1956 nga kati gyemyaka 62 egiyise, Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca A. Kadaga yatonnya ku nsi, ntegeeza nti yazaalibwa. Ku mazaalibwa ga sipiika gano, walabiseewo katemba anti ababaka abaagaliza Kadaga abirungi, obuyimba bwa happi birthday babumuyimbidde atudde mu ntebe ye eyobwasipiika.