Jamil Mukulu Alabiseeko mu Kkooti Naye Tamanyi Misango Gimuvunaanibwa

0
846

Omulamuzi wa Kkooti enkulu wano mu Kampala eyo Eva Luswata alagidde abakulira ebyokwerinda obutaddayo kussa Jamil Mukulu ne banne nga ku mpingu nga batwalibwa mu kagguli kyagambye nti kirinyirira eddembe lyabwe. Omulamuzi Eva Luswata omusango gwa bano agwongezaayo okutuusa nga 14 omwezi ogujja.