Katikkiro Mayiga Akooye Okusirika

0
1370

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti pulezidenti Museveni yavvoola dda endagaano gyeyakola ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu 2013, eyali okuddiza Buganda ebyaayo. Mukuuma ddamula ategeezezza bannamawulire mu Bulange e Mengo ku mbuga enkulu ey’obwakabaka, nti ebintu ebyaddizibwa katundu butundu ku lukalala Buganda nga gavumenti ya Beene lwebanja Gavt eya wakati.