Museveni agamba atalina ttaka liwera tolima bikajjo

0
523

Pulezidenti Museveni akaayuukidde Bannayuganda abeenyigira mu nga tebeteeseteese kimala kulima ebikajjo eby’okuguza amakolero ga sukaali era n’ategeeza nti etteeka lya sukaali lyakyusibwa, liwere omuntu yenna ataweza yiika z’ettaka 6 okwenyigira mu kulima bikajjo bya kutunda.
Bino pulezidenti Museveni abyogeredde ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ekyawandiikiddwa musigansimbi Mehta Madhvani ekituumiddwa “The call of the peacock,” ekivvuunulwa nti “okuyitibwa kwa Nnyonyi muzinge.