Olukungaana Lw'obwegassi Bwa DP, Ebikankanya Biyogeddwa

0
892

Banna DP leero bakungaanidde e Makerere basale entotto ku butya bwebayinza okwezza obujja n’okutuukiriza ebiruubirirwa ebyatonzawo ekibiina kino. Muno nga mwemubadde ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti wamu n’abakulembeze b’ebibiina ebirala wabula bakira bulyomu awanda muliro nekigenderererwa kyokukyusa bannakibiina okulowooza ku kyokutwala obuyinza