Waliwo Abalumbye Embuga ya Nakayima

0
597

Waliwo abantu abeeyita Abasezima, abavuddeyo nebakalambira nti bebalina obuvunaanyizibwa ku mbuga awaaziikibwa Nakayima mu disitulikiti ey’e Mubende. E Kiyuuni Kayinja mu district y’e Mubende kati y’ewali endooliito ku ani alina obuyinza ku mbuga ya Nakayima abangi gwebayita omusambwa era abagiwambye beewera butagita, okufa n’obutanyagwa.

More News