Omubaka Ebigambo Bya ‘Muzeeyi’ Obiwulidde?

0
882

Oluvanyuma lw’omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni okwogera eri egwanga nga anyonyola ebitukiddwako mu mwaka omulamba kwosa nentekateka ya gavumenti mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, ababaka ba palamenti, ba minisita kwosa n’abakungu b’ebitongole ebyenjawulo bakubye tooci mu kwogera kwa pulezidenti. Abakaka abamu naddala abali mu NRM bawaanye enjogera ya Museveni, nga bagamba nti kumpi buli nsonga ajoogeddeko. Kyokka bannaabwe abooludda oluvuganya oba oluwabula gavumenti, okwogera kw’omukulembeze bakukubyemu ebituli nga bagamba nti ensonga z’ebyokwerinda tazogeddeko bulungi era bannayuganda basigadde mukutya.