Abagambibwa Okutta Magara Bebano

0
930

Kkooti ya Buganda Road eyongezzayo okuwulira okunoonyereza wekutuuse ku musango oguvunaanibwa abakwate 9 abateeberezebwa okuba nga beenyigira mu kutta omugenzi Suzan Magara mu mwezi Gwokubiri omwaka guno. Wabula abakwate beemulugunyizza mu maaso g’omulamuzi Robert Mukanza ku bintu byabwe ebikyakwatiddwa poliisi n’abantu baabwe abaabuzibwawo nga tebamanyi mayitire gaabwe negyebuli kati.