Abasiraamu Balina Enyiike Lwa Kubavunaana Ebitaliyo

0
466

Abasiraamu abaali baakwatibwa nga bateeberezebwa okwenyigira mu kutta basiraamu bannaabwe mu 2015 bambalidde saabawaabi wa gavumenti nga baagala baliyirirwe olw’okwanikibwa ng’abamenyi b’amateeka bwebaali bakwatiddwa ate n’okutulugunyizibwa nga bali mu kkomera byebagamba nti byabaviirako endwadde. Abasiraamu bano baggyibwako emisango ku ntandikwa y’omwezi oguwedde oluvannyuma lw’emyaka esatu mu nkomyo.