Abavuganya Tebamatidde Pulezidenti Museveni Kubyokwerinda

0
356

Ababaka ba paalamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Winnie Kiiza basekeredde enjogera y’omukulembeze w’eggwanga na biki byayanjuridde bannayuganda okulwanyisa obumnenyi bwamateka obukudde ejjembe. Bano bagambye nti ebyo ebyanjuddwa omukulu tebiwa munnanyuganda ssuubi ku butebenkevu bw’eggwanga lino, era nebeewuunya engeri omuduumizi w’ebitongole ebikwata emmundu byonna owokuntikko, gyanyinza okubuusa amaaso ensonga ya musajja we Gen. Kale Kayihura, sso nga bannanyuganda babadde balindiridde okubannyonnyola. Kyokka bo aba NRM bagamba nti bannayuganda basiimeko nti gavumenti erina kyamaanyi kyekola nga era kabwejumbira bwabinnyonnyodde.