Gavumenti Esonze mu Bannamawulire

0
918

Abatambulirako ensonga z’ebyokwerinda mu ggwanga okuli baminister n’abaduumizi b’ebitongole by’ebyokwerinda okuli police, amagye n’amakomera balumirizza ebitongole by’amawulire okusajjula embeera y’ebyokwerinda mu ggwanga nga bisajjula embeera ey’obumenyi bw’amateeka ebeera etuusewo. Okwogera bino baabadde ku wooteri ya Serena mu Kampala olunaku lwagyo, mu kukubaganya ebirowoozo okwategekeddwa NBS Television okutanya embeeera y’ebyokwerinda mu Ggwanga.