Gen. Otafiire Awaanye Kirumira Nti Yeyabagaamba ku Kawuukuumi mu Poliisi

0
493

Minisita w’ensonga za ssemateeka Maj Gen Kahinda Otafiire asiimye eyali aduumira poliisi e Buyende Mohammad Kirumira olw’okuzibula Gavt amaaso ku kutulugunya bannayuganda mu bitongole ebikuuma ddembe kyagambye nti babadde bakibuusa amaaso bulijjo. Kyokka ye Mohammad Kirumira ategeezezza nti obumulumulu mu bitongole ebikuuma ddembe bukyaali bungi nga bwebutamalibwaamu eggwanga ssi lyakutebenkera kati.