Nambooze Asaana Okusigala Nga Musibe?

0
697

Pulezidenti w’ekibiina ekitaba bannamateeka mu Uganda ekya Uganda Law Society Simon Peter Kinobe alabudde poliisi ku ngeri gyekuttemu ensonga z’obulamu bw’omubaka w’ekibuga ky’e Mukono Betty Nambooze mu kiseera kino ali ku kitanda mu ddwaliro e Kiruddu.
Kinobe agamba mu kiseera kino poliisi Nambooze emukuuma mu bukyamu nga n’embeera gyalimu singa akabi konna kamutuukako aba poliisi Ssekinoomu abamwezinzeeko baakuvunanibwa.